378 101 11MB
Ganda Pages [196] Year 2014
MINISTRY OF EDUCATION AND SPORTS
•
Pupil Book Luganda
Nsobola okusoma n'okuwandiika
A publication of the Ministry of Education, Science, Technology and Sports, Uganda National Curriculum Development Centre Copyright © 2014 by RTI International RTI International is a registered trademark and a trade name of Research Triangle Institute.
This work is licensed under the Creative Commons Attribution 4.0 International License. To view a copy of this license, visit http://creativecommons.org/licenses/by/4.0/.
Endagiriro Walifu y’Oluganda ........................................................ 2 Olusoma 1 ....................................................................... 3
Wiiki 1 ............................................................................. 4 Wiiki 2 ............................................................................. 10 Wiiki 3 ............................................................................. 16 Wiiki 4 ............................................................................. 22 Wiiki 5 ............................................................................. 28 Wiiki 6 ............................................................................. 34 Wiiki 7 ............................................................................. 40 Wiiki 8 ............................................................................. 46 Wiiki 9 ............................................................................. 52 Wiiki 10 ........................................................................... 58 Wiiki 11 ........................................................................... 64
Olusoma 2 ....................................................................... 71
Wiiki 2 ............................................................................ 72 Wiiki 3 ............................................................................ 78 Wiiki 4 ............................................................................ 84 Wiiki 5 ............................................................................ 90 Wiiki 6 ............................................................................ 96 Wiiki 7 ............................................................................ 102 Wiiki 8 ............................................................................ 108 Wiiki 9 ............................................................................ 114 Wiiki 10 .......................................................................... 120 Wiiki 11 .......................................................................... 126
Olusoma 3 ....................................................................... 133 Wiiki 2 ............................................................................ 134 Wiiki 3 ............................................................................. 140 Wiiki 4 ............................................................................. 146 Wiiki 5 ............................................................................. 152 Wiiki 6 ............................................................................. 158 Wiiki 7 ............................................................................. 164 Wiiki 8 ............................................................................. 170 Wiiki 9 ............................................................................. 176 Wiiki 10 ............................................................................ 182 Wiiki 11 ........................................................................... 188
1
Walifu y’Oluganda Walifu y'Oluganda
Aa Dd Gg Jj Mm Ŋŋ Rr Uu Yy
2
Bb Cc Ee Ff Hh Ii Kk Ll N n Ny ny Oo Pp Ss Tt Vv Ww Zz
Olusoma 1
3
Essomero lyaffe n’emiriraano
Essomero lyaffe
KITO IMALE PULAY ” “FUBA
Lule ne Nagawa basomera Kito Pulayimale.
Essomero lino lisangibwa ku kyalo Kito. Abayizi bambala yunifoomu ya kiragala. Lule talina yunifoomu.
4
4
Term 1 Week 1 Day 1
Essomero lyaffe gyerisangibwa, obubonero n’emigaso gyalyo
Ebigambo byaffe linnya
luguudo
kyalo
ssomero
kipande
kizimbe
Okuzimba ebigambo kipande
kizimbe
kide
Term 1 Week 1 Day 2
ki-pande
kipande
bi-pande
bipande
ki-zimbe
kizimbe
bi-zimbe
bizimbe
ki-de
kide
bi-de
bide
5
5
Essomero lyaffe n’emiriraano
Essomero lyaffe
KITO PULAYIMALE “FUBA”
Lule addayo awaka. Taata amugulira yunifoomu. Yunifoomu eriko akabonero. Lule asanyuka.
6
6
Term 1 Week 1 Day 3
Essomero lyaffe gyerisangibwa, obubonero n’emigaso gyalyo
Ebigambo byaffe akabonero
yunifoomu
oluyimba
ekide
bendera
moto
Okuzimba emboozi Abaana balina yunifoomu. Abaana balina yunifoomu? Essomero lirina bendera. Essomero lirina bendera? Yunifoomu erina akabonero. Yunifoomu erina akabonero?
Term 1 Week 1 Day 4
7
7
Essomero lyaffe n’emiriraano
Essomero lyaffe Lule ne Nagawa basomera Kito Pulayimale.
Essomero lino lisangibwa ku kyalo Kito. Abayizi bambala yunifoomu ya kiragala. Lule talina yunifoomu.
Lule addayo awaka. Taata amugulira yunifoomu. Yunifoomu eriko akabonero. Lule asanyuka.
8
8
Term 1 Week 1 Day 5
Essomero lyaffe gyerisangibwa, obubonero n’emigaso gyalyo
KITO PULAYIM AL “FUBA” E
Okwejjukanya kipande
ki-pande
kipande
kikoola
__________
__________
kikopo
__________
__________
bi-pande
bipande
Abaana balina yunifoomu.
Abaana balina yunifoomu? Nagawa asala oluguudo. Ku luguudo kuliko ekipande.
Term 1 Week 1 Day 5
9
9
Essomero lyaffe n’emiriraano
Obutimba
Ku ssomero lya ba Lule waliyo okugabira abantu obutimba. Obutimba bwa nsiri. Essomero lirina
emmotoka. Emmotoka ereeta abasawo. Abasawo baleeta obutimba naye abantu tebalina ntebe.
10
10
Term 1 Week 2 Day 1
Emigaso gy’essomero eri ab’emiriraano
Ebigambo byaffe lukiiko
katimba
basoma
ssomero
kugema
kugaba
Okuzimba ebigambo kakiiko
ka-kiiko
kakiiko
kasomero
ka-somero
kasomero
kamotoka
ka-motoka
kamotoka
Term 1 Week 2 Day 2
11
11
Essomero lyaffe n’emiriraano
Obutimba
Essomero liwa abantu entebe. Abantu batuula ku
ntebe. Abasawo bagabira abantu bonna obutimba. Nagawa bamuwa akatimba. Lule naye bamuwa akatimba.
12
12
Term 1 Week 2 Day 3
Emigaso gy’essomero eri ab’emiriraano
Ebigambo byaffe luguudo
bulungi
balima
kugogola
abawala
bubi
Okuzimba emboozi Abawala balima oluguudo. Abawala balima bulungi oluguudo. Abaana bagogola oluzzi. Abaana bagogola bulungi oluzzi. Abayizi basala oluguudo. Abayizi basala bulungi oluguudo.
Term 1 Week 2 Day 4
13
13
Essomero lyaffe n’emiriraano
Obutimba Ku ssomero lya ba Lule waliyo okugabira abantu obutimba. Obutimba bwa nsiri. Essomero lirina
emmotoka. Emmotoka ereeta abasawo. Abasawo baleeta obutimba naye abantu tebalina ntebe.
Essomero liwa abantu entebe. Abantu batuula ku
ntebe. Abasawo bagabira abantu bonna obutimba. Nagawa bamuwa akatimba. Lule naye bamuwa akatimba.
14
14
Term 1 Week 2 Day 5
Emigaso gy’essomero eri ab’emiriraano
Okwejjukanya kasomero
ka-somero
kasomero
kakopo
________
________
kasowaani
________
________
Abawala balima oluguudo.
Abawala balima bulungi oluguudo. Abaana basoma ebitabo. Abaana basoma ebitabo. Abayizi bayimba oluyimba. Abayizi bayimba oluyimba. Term 1 Week 2 Day 5
15
15
Essomero lyaffe n’emiriraano
Ensolo ku ssomero
Mwami Zirimala mulunzi. Alunda ente, embuzi, enkoko, embaata ne ssekkokko. Ensolo ze zino
tazisiba, zitaayaaya. Ensolo ze zoonoona ebintu
ku ssomero. Abasomesa banyiiga ne bamunenya. Mwami Zirimala tafaayo abanyooma.
16
16
Term 1 Week 3 Day 1
Ebireeta emitawaana wakati w’essomero n’emiriraano
Ebigambo byaffe nyooma
zoonoona
zitaayaaya
banyiiga
bamunenya
zino
Okuzimba ebigambo nyooma
a-nyooma ba-nyooma
anyooma banyooma
yita
a-yita ba-yita
ayita bayita
nenya
a-nenya ba-nenya
anenya banenya
Term 1 Week 3 Day 2
17
17
Essomero lyaffe n’emiriraano
Ensolo ku ssomero
Omukulu w’essomero aloopa Mwami Zirimala mu
bakulembeze. Abakulembeze balambula essomero. Bawandiika ebyonoonese. Bayita Mwami Zirimala ne bamunenya. Mwami Zirimala yeetonda. Bonna bamusonyiwa.
18
18
Term 1 Week 3 Day 3
Ebireeta emitawaana wakati w’essomero n’emiriraano
Ebigambo byaffe mbaata
baamusonyiwa
baamunenya
yeetonda
baalagira
anyiiga
Okuzimba emboozi Zirimala bamusonyiwa. Zirimala baamusonyiwa. Abazadde bamutuma ekitabo. Abazadde baamutuma ekitabo. Abakulembeze bamuyita ku ssomero. Abakulembeze baamuyita ku ssomero.
Term 1 Week 3 Day 4
19
19
Essomero lyaffe n’emiriraano
Ensolo ku ssomero Mwami Zirimala mulunzi. Alunda ente, embuzi, enkoko, embaata ne ssekkokko. Ensolo ze zino
tazisiba, zitaayaaya. Ensolo ze zoonoona ebintu
ku ssomero. Abasomesa banyiiga ne bamunenya. Mwami Zirimala tafaayo abanyooma.
Omukulu w’essomero aloopa Mwami Zirimala mu
bakulembeze. Abakulembeze balambula essomero. Bawandiika ebyonoonese. Bayita Mwami Zirimala ne bamunenya. Mwami Zirimala yeetonda. Bonna bamusonyiwa.
20
20
Term 1 Week 3 Day 5
Ebireeta emitawaana wakati w’essomero n’emiriraano
Okwejjukanya nyooma
a-nyooma
anyooma
ba-nyooma
banyooma
nyiiga
_________
__________
loopa
_________
__________
Zirimala bamusonyiwa.
Zirimala baamusonyiwa. Lule bamuleeta ku ssomero. Nagawa bamutuma omuzadde.
Term 1 Week 3 Day 5
21
21
Awaka n’ekitundu kyaffe
Eŋŋanda zaffe
Jajja wa Nagawa mulwadde lubyamira. Omugongo nagwo gumuluma nnyo. Taata ne ssenga bajja
mu kyalo okumulaba. Basalawo okumutwala mu ddwaliro.
22
22
Term 1 Week 4 Day 1
Eŋŋanda zaffe
Ebigambo byaffe lubyamira
abooluganda
bimuluma
amagezi
mugongo
ayita
Okuzimba ebigambo luma
a-luma ta-luma
aluma taluma
wonya
a-wonya ta-wonya
awonya tawonya
yita
a-yita ta-yita
ayita tayita
Term 1 Week 4 Day 2
23
23
Awaka n’ekitundu kyaffe
Eŋŋanda zaffe
Kizibwe wa Lule ne Nagawa musawo mukulu mu ddwaliro. Awa jajja ekitanda era amujjanjaba. Ssenga alabirira jajja mu ddwaliro. Abaana,
abazzukulu ne mikwano gya jajja bamulambula.
24
24
Term 1 Week 4 Day 3
Eŋŋanda zaffe
Ebigambo byaffe jajja
mukadde
ssenga
omuggo
kojja
muzadde
Okuzimba emboozi Omusajja akuba ebintu. Omusajja akubba ebintu. Kojja ata enkoko. Kojja atta enkoko. Ssenga asa bubi. Ssenga assa bubi.
Term 1 Week 4 Day 4
25
25
Awaka n’ekitundu kyaffe
Eŋŋanda zaffe Jajja wa Nagawa mulwadde lubyamira. Omugongo nagwo gumuluma nnyo. Taata ne ssenga bajja
mu kyalo okumulaba. Basalawo okumutwala mu ddwaliro.
Kizibwe wa Lule ne Nagawa musawo mukulu mu ddwaliro. Awa jajja ekitanda era amujjanjaba. Ssenga alabirira jajja mu ddwaliro. Abaana,
abazzukulu ne mikwano gya jajja bamulambula.
26
26
Term 1 Week 4 Day 5
Eŋŋanda zaffe
Okwejjukanya luma
a-luma ta-luma
aluma taluma
sena
________
________
laba
________
________
Omusajja akuba ebintu. Omusajja akubba ebintu. Ssenga asusa ebinyeebwa. Ebibbo bigwa. Term 1 Week 4 Day 5
27
27
Awaka n’ekitundu kyaffe
Okukyalira abaana
Lule ne Nagawa basoma mu kibiina kyakubiri.
Omusomesa waabwe ye Mwami Byansi. Leero abazadde bazze ku ssomero okulaba abaana
bwe basoma. Nagawa asoma bubi. Bazadde be banyiiga. Babuuza omusomesa kwe kiva.
28
28
Term 1 Week 5 Day 1
Obuvunaanyizibwa bw’abantu ab’enjawulo mu kitundu kyaffe
Ebigambo byaffe ensoma
banyiize
babuuza
bazadde
yasomye
kivudde
Okuzimba ebigambo soma
n-soma tu-soma
nsoma tusoma
nyiize
n-nyiize tu-nyiize
nnyiize tunyiize
tambula
n-tambula tu-tambula
ntambula tutambula
Term 1 Week 5 Day 2
29
29
Awaka n’ekitundu kyaffe
Okukyalira abaana
Omusomesa annyonnyola nti Nagawa azannyira mu kibiina. Taata anyiiga, ayagala okukuba
Nagawa. Maama akkakkanya taata. Maama ne taata boogera ne Nagawa. Nagawa yeetonda era asuubiza okusoma obulungi. Omusomesa abasuubiza okwongera okumuyamba.
30
30
Term 1 Week 5 Day 3
Obuvunaanyizibwa bw’abantu ab’enjawulo mu kitundu kyaffe
Ebigambo byaffe kusomesa
kulunda
kulima
kubajja
kukuuma
kuweesa
Okuzimba emboozi Omusomesa asomesa abaana. Abasomesa basomesa abaana. Omulimi alima mu nnimiro. Abalimi balima mu nnimiro. Omukuumi akuuma essomero. Abakuumi bakuuma essomero.
Term 1 Week 5 Day 4
31
31
Awaka n’ekitundu kyaffe
Okukyalira abaana Lule ne Nagawa basoma mu kibiina kyakubiri.
Omusomesa waabwe ye Mwami Byansi. Leero abazadde bazze ku ssomero okulaba abaana
bwe basoma. Nagawa asoma bubi. Bazadde be banyiiga. Babuuza omusomesa kwe kiva.
Omusomesa annyonnyola nti Nagawa azannyira mu kibiina. Taata annyiiga, ayagala okukuba
Nagawa. Maama akkakkanya taata. Maama ne taata boogera ne Nagawa. Nagawa yeetonda era asuubiza okusoma obulungi. Omusomesa abasuubiza okwongera okumuyamba.
32
32
Term 1 Week 5 Day 5
Obuvunaanyizibwa bw’abantu ab’enjawulo mu kitundu kyaffe
Okwejjukanya soma
n-soma tu-soma
nsoma tusoma
zimba
_________
_________
kuuma
_________
_________
Omusomesa asomesa abaana. Abasomesa basomesa abaana. Omubazzi abajja entebe. Omusajja alima mu nnimiro. Term 1 Week 5 Day 5
33
33
Awaka n’ekitundu kyaffe
Abagenyi
Taata ne maama baaniriza abagenyi. Nagawa
aleeta emikeeka. Abagenyi batuula mu kisiikirize.
Nagawa ne Lule balamusa abagenyi. Maama aleeta ekyokunywa. Enkuba eyagala kutonnya.
34
34
Term 1 Week 6 Day 1
Ebyobuwangwa n’ennono mu kitundu kyaffe
Ebigambo byaffe kufukamira
kubuuza
kutuula
kutonnya
kwaniriza
bagenyi
Okuzimba ebigambo fukamira
n-fukamira si-fukamira
nfukamira sifukamira
kola
n-kola si-kola
nkola sikola
kaaba
n-kaaba si-kaaba
nkaaba sikaaba
Term 1 Week 6 Day 2
35
35
Awaka n’ekitundu kyaffe
Abagenyi
Abagenyi bayingira mu nnyumba. Maama ne
Nagawa baleeta emmere. Lule aleeta amazzi. Abagenyi banaaba mu ngalo. Maama abega emmere. Bonna balya ne basanyuka.
36
36
Term 1 Week 6 Day 3
Ebyobuwangwa n’ennono mu kitundu kyaffe
Ebigambo byaffe kusinza
kwebaza
kulamusa
kwetonda
kunaaba
kusanyuka
Okuzimba emboozi Nfukamira nga mbuuza. Tufukamira nga tubuuza. Ntuula bulungi nga ndya. Tutuula bulungi nga tulya. Nfukamira nga nsinza. Tufukamira nga tusinza.
Term 1 Week 6 Day 4
37
37
Awaka n’ekitundu kyaffe
Abagenyi Taata ne maama baaniriza abagenyi. Nagawa
aleeta emikeeka. Abagenyi batuula mu kisiikirize.
Nagawa ne Lule balamusa abagenyi. Maama aleeta ekyokunywa. Enkuba eyagala kutonnya.
Abagenyi bayingira mu nnyumba. Maama ne
Nagawa baleeta emmere. Lule aleeta amazzi. Abagenyi banaaba mu ngalo. Maama abega emmere. Bonna balya ne basanyuka.
38
38
Term 1 Week 6 Day 5
Ebyobuwangwa n’ennono mu kitundu kyaffe
Okwejjukanya fukamira
n-fukamira si-fukamira
nfukamira sifukamira
tuula
__________
_________
kuba
__________
_________
Nfukamira nga mbuuza. Tufukamira nga tubuuza. Nsanyuka nga mmaze okulya. Nnaaba mu ngalo nga ŋŋenda okulya. Term 1 Week 6 Day 5
39
39
Omubiri n’ebyobulamu
Alumizibwa
Lule ne Nagawa batambuza bigere. Bava
ku ssomero nga bakooye. Nagawa amagulu
gamuluma, atuula wansi. Lule amukwata ku mukono batambule. Nagawa akaaba.
40
40
Term 1 Week 7 Day 1
Emigaso gy’ebitundu by’omubiri
Ebigambo byaffe bigere
batambule
magulu
kukwata
mukono
kukaaba
Okuzimba ebigambo tambula
ba-tambula ba-tambul-e
batambula batambule
kwata
ba-kwata ba-kwat-e
bakwata bakwate
kaaba
ba-kaaba ba-kaab-e
bakaaba bakaabe
Term 1 Week 7 Day 2
41
41
Omubiri n’ebyobulamu
Alumizibwa
Lule alaba omusajja avuga akagaali. Lule amuyita
abayambe. Omusajja asitula Nagawa, amutuuza ku kagaali. Lule awanirira Nagawa ne badda eka. Bwe batuuka awaka, maama amunyiga amagulu.
42
42
Term 1 Week 7 Day 3
Emigaso gy’ebitundu by’omubiri
Ebigambo byaffe kusenya
kuwulira
bulijjo
kulaba
amannyo
kuwunyiriza
Okuzimba emboozi Bulijjo Lule alaba ekinyonyi. Luli Lule yalaba ekinyonyi. Bulijjo Nagawa awulira oluyimba. Luli Nagawa yawulira oluyimba. Bulijjo omulenzi asenya amannyo. Luli omulenzi yasenya amannyo.
Term 1 Week 7 Day 4
43
43
Omubiri n’ebyobulamu
Alumizibwa Lule ne Nagawa batambuza bigere. Bava
ku ssomero nga bakooye. Nagawa amagulu
gamuluma, atuula wansi. Lule amukwata ku mukono batambule. Nagawa akaaba.
Lule alaba omusajja avuga akagaali. Lule amuyita
abayambe. Omusajja asitula Nagawa, amutuuza ku kagaali. Lule awanirira Nagawa ne badda eka. Bwe batuuka awaka, maama amunyiga amagulu.
44
44
Term 1 Week 7 Day 5
Emigaso gy’ebitundu by’omubiri
Okwejjukanya tambula
ba-tambula ba-tambul-e
batambula batambule
situla
__________
_________
laba
__________
_________
Bulijjo Lule alaba ekinyonyi. Luli Lule yalaba ekinyonyi. Bulijjo Nalule anaaba mu maaso. Bulijjo maama atyaba enku. Term 1 Week 7 Day 5
45
45
Omubiri n’ebyobulamu
Obuyonjo
Mu maka ga ba Lule bali bumu. Maama ayera
ennyumba. Lule ayera oluggya. Nagawa asiimuula olubalaza. Taata addaabiriza ekinaabiro. Oluggya lwa ba Lule luzise.
46
46
Term1 Week 8 Day 1
Ebyobuyonjo
Ebigambo byaffe kulima
kinaabiro
kukuuta
ffumbiro
kusiimuula
nnyumba
Okuzimba ebigambo lima
simuula
naaba
Term 1 Week 8 Day 2
a-lima
alima
ya-lima
yalima
a-siimuula
asiimuula
ya-siimuula
yasiimuula
a-naaba
anaaba
ya-naaba
yanaaba
47
47
Omubiri n’ebyobulamu
Obuyonjo
Taata akutte oluso asaawa. Lule alima. Nagawa alina ssabbuuni, amazzi ne bbulaasi. Agenda
kukuuta kaabuyonjo. Maama ayasa enku okufumba amazzi. Buli omu akola emirimu.
48
48
Term 1 Week 8 Day 3
Ebyobuyonjo
Ebigambo byaffe bulijjo
kwokya
edda
kwera
eggulo
luggya
Okuzimba emboozi Oyokya ebisasiro. Edda wayokyanga ebisasiro. Oyera oluggya. Edda wayeranga oluggya. Osiimuula ennyumba. Edda wasiimuulanga ennyumba.
Term 1 Week 8 Day 4
49
49
Omubiri n’ebyobulamu
Obuyonjo Mu maka ga ba Lule bali bumu. Maama ayera
ennyumba. Lule ayera oluggya. Nagawa asiimuula olubalaza. Taata addaabiriza ekinaabiro. Oluggya lwa ba Lule luzise.
Taata akutte oluso asaawa. Lule alima. Nagawa alina ssabbuuni, amazzi ne bbulaasi. Agenda
kukuuta kaabuyonjo. Maama ayasa enku okufumba amazzi. Buli omu akola emirimu.
50
50
Term 1 Week 8 Day 5
Ebyobuyonjo
Okwejjukanya lima yonja saawa
a-lima
alima
__________
_________
__________
_________
ya-lima
yalima
Oyokya ebisasiro.
Edda wayokyanga ebisasiro. Oyoza engoye. Okuuta ennyumba.
Term 1 Week 8 Day 5
51
51
Omubiri n’ebyobulamu
Obukyafu bubi
Kamagu mukwano gwa Lule ne Nagawa. Kamagu
mukyafu. Abasomesa bakebera obuyonjo. Basanga
Kamagu tanaaba, tayoza, tasala njala era tasenya. Abasomesa bamutwala eri omukulu w’essomero.
52
52
Term 1 Week 9 Day 1
Obuyonjo bw’omubiri
Ebigambo byaffe kunaaba
kukebera
kwoza
mukyafu
kusenya
muyonjo
Okuzimba ebigambo naaba
a-naaba ta-naaba
anaaba tanaaba
yoza
a-yoza ta-yoza
ayoza tayoza
senya
a-senya ta-senya
asenya tasenya
Term 1 Week 9 Day 2
53
53
Omubiri n’ebyobulamu
Obukyafu bubi
Omukulu w’essomero atuma Kamagu omuzadde. Kamagu aleeta muzadde we. Omuzadde abuuza ensonga emuyisizza. Omukulu w’essomero
amunnyonnyola nti Kamagu mukyafu. Omuzadde wa Kamagu asuubiza okumuyonja.
54
54
Term 1 Week 9 Day 3
Obuyonjo bw’omubiri
Ebigambo byaffe amaaso
kusala
amannyo
njala
kusenya
wiiki
Okuzimba emboozi Buli lunaku nnaaba mu maaso. Buli lunaku tunaaba mu maaso. Buli lunaku nsenya amannyo. Buli lunaku tusenya amannyo. Buli lunaku nsalako enjala. Buli lunaku tusalako enjala.
Term 1 Week 9 Day 4
55
55
Omubiri n’ebyobulamu
Obukyafu bubi Kamagu mukwano gwa Lule ne Nagawa. Kamagu
mukyafu. Abasomesa bakebera obuyonjo. Basanga
Kamagu tanaaba, tayoza, tasala njala era tasenya. Abasomesa bamutwala eri omukulu w’essomero. Omukulu w’essomero atuma Kamagu omuzadde. Kamagu aleeta muzadde we. Omuzadde abuuza ensonga emuyisizza. Omukulu w’essomero
amunnyonnyola nti Kamagu mukyafu. Omuzadde wa Kamagu asuubiza okumuyonja.
56
56
Term 1 Week 9 Day 5
Obuyonjo bw’omubiri
Okwejjukanya naaba
a-naaba ta-naaba
anaaba tanaaba
kuuta
_________
_________
sanirira
_________
_________
Buli lunaku nnaaba mu maaso. Buli lunaku tunaaba mu maaso. Buli lunaku nfumba amazzi. Buli lunaku nsanirira enviiri. Term 1 Week 9 Day 5
57
57
Emmere n’emigaso gyayo
Ku lujjuliro
Lule ne Nagawa bali ku lujjuliro. Nagawa alya
lumonde, omuceere ne muwogo byokka. Nagawa alina amabwa ku mubiri. Lule alya emicungwa, nakati ne ovakkedo byokka. Lule munafu. Abazadde beebuuza ekirwaza abaana.
58
58
Term 1 Week 10 Day 1
Ebika by’emmere
Ebigambo byaffe lumonde
micungwa
muceere
munafu
muwogo
mabwa
Okuzimba ebigambo bbwa
bbwa ma-bwa
bbwa mabwa
ppeera
ppeera ma-peera
ppeera mapeera
ggi
ggi ma-gi
ggi magi
Term 1 Week 10 Day 2
59
59
Emmere n’emigaso gyayo
Ku lujjuliro
Maama atwala abaana mu ddwaliro. Omusawo
akebera abaana. Omusawo abawa amagezi okulya obulungi. Nagawa ne Lule balya emmere erimu emigaso gyonna. Oluvannyuma baba bulungi. Abazadde basanyuka.
60
60
Term 1 Week 10 Day 3
Ebika by’emmere
Ebigambo byaffe ebinyeebwa
okusoma
akawunga
okulya
ekyennyanja
okugejja
Okuzimba emboozi Abaana balya lumonde. Abaana baalya lumonde. Abazadde bafuna amaanyi. Abazadde baafuna amaanyi. Abaana basoggola lumonde. Abaana baasoggola lumonde.
Term 1 Week 10 Day 4
61
61
Emmere n’emigaso gyayo
Ku lujjuliro Lule ne Nagawa bali ku lujjuliro. Nagawa alya
lumonde, omuceere ne muwogo byokka. Nagawa alina amabwa ku mubiri. Lule alya emicungwa, nakati ne ovakkedo byokka. Lule munafu. Abazadde beebuuza ekirwaza abaana.
Maama atwala abaana mu ddwaliro. Omusawo
akebera abaana. Omusawo abawa amagezi okulya obulungi. Nagawa ne Lule balya emmere erimu emigaso gyonna. Oluvannyuma baba bulungi. Abazadde basanyuka.
62
62
Term 1 Week 10 Day 5
Ebika by’emmere
Okwejjukanya bbwa
bbwa ma-bwa
bbwa mabwa
kkobe
__________
__________
ttugunda
__________
__________
Abaana balya lumonde. Abaana baalya lumonde. Abayizi basoma ebitabo. Abaana banywa amazzi. Term 1 Week 10 Day 5
63
63
Emmere n’emigaso gyayo
Endya ennungi
Bazadde ba Lule ne Nagawa balima emmere.
Emmere ya bika bya njawulo. Maama afumba
emmere eno ku buli kijjulo. Emmere eno eyamba
okuzimba omubiri. Eyamba okuziyiza endwadde. Eyamba okufuna amaanyi. Buli muntu yeetaaga okulya emmere eno yonna.
64
64
Term 1 Week 11 Day 1
Emigaso gy’endya ennungi
Ebigambo byaffe bibala
ndwadde
mugaso
kuzimba
bika
kijjulo
Okuzimba ebigambo kibala
ki-bala bi-bala
kibala bibala
kiseera
ki-seera bi-seera
kiseera biseera
kijjulo
ki-jjulo bi-jjulo
kijjulo bijjulo
Term 1 Week 11 Day 2
65
65
Emmere n’emigaso gyayo
Endya ennungi
Abantu abamu emmere gye balya tebawa migaso
gyonna. Kino kivaamu okuzimba omubiri, okuziba amaaso, okugongobala, oluusi okufa. Omuntu
atalya mmere ya migaso gyonna aba mukovvu.
Oluusi azimba omubiri oba okuseenyuuka enviiri. Oluusi omuntu oyo aggwaamu amaanyi.
66
66
Term 1 Week 11 Day 3
Emigaso gy’endya ennungi
Ebigambo byaffe kulya
munafu
kunywa
wa maanyi
mazzi
enva endiirwa
Okuzimba emboozi Omwana alya ebibala abeera mulamu bulungi. Omwana atalya bibala tabeera mulamu bulungi. Omwana anywa amazzi abeera mulamu bulungi. Omwana atanywa mazzi tabeera mulamu bulungi. Omwana alya enva endiirwa abeera mulamu bulungi. Omwana atalya nva ndiirwa tabeera mulamu bulungi.
Term 1 Week 11 Day 4
67
67
Emmere n’emigaso gyayo
Endya ennungi Bazadde ba Lule ne Nagawa balima emmere.
Emmere ya bika bya njawulo. Maama afumba
emmere eno ku buli kijjulo. Emmere eno eyamba
okuzimba omubiri. Eyamba okuziyiza endwadde. Eyamba okufuna amaanyi. Buli muntu yeetaaga okulya emmere eno yonna.
Abantu abamu emmere gye balya tebawa migaso
gyonna. Kino kivaamu okuzimba omubiri, okuziba amaaso, okugongobala, oluusi okufa. Omuntu
atalya mmere ya migaso gyonna aba mukovvu.
Oluusi azimba omubiri oba okuseenyuuka enviiri. Oluusi omuntu oyo aggwaamu amaanyi.
68
68
Term 1 Week 11 Day 5
Emigaso gy’endya ennungi
Okwejjukanya kibala
ki-bala bi-bala
kibala bibala
kisero
__________
_________
kitooke
__________
_________
Omwana alya ebibala abeera mulamu bulungi. Omwana atalya bibala tabeera mulamu bulungi. Omwana anaaba abeera muyonjo. Omwana anywa amazzi abeera mulamu bulungi. Term 1 Week 11 Day 5
69
69
70
Olusoma 2
71
Ebitwetoolodde
Ebisolo n’ebinyonyi
Ewaffe waliyo ebisolo, waliyo ebinyonyi. Ebimu
bibeera waka, ebirala bibeera mu nsiko. Ebisolo
ebimu bituyamba okukuuma awaka. Ebirala bituwa ennyama. Ebinyonyi ebimu bituwa amagi. Oluusi tubitunda ne tufuna ensimbi. Kyokka ebimu byonoona ebirime.
72
72
Term 2 Week 2 Day 1
Ebisolo ebya bulijjo
Ebigambo byaffe ndegeya
bituyamba
binyonyi
kitugasa
bisolo
kukuuma
Okuzimba ebigambo yamba
ki-tu-yamba bi-tu-yamba
kituyamba bituyamba
gasa
ki-tu-gasa bi-tu-gasa
kitugasa bitugasa
kuuma
ki-tu-kuuma bi-tu-kuuma
kitukuuma bitukuuma
Term 2 Week 2 Day 2
73
73
Ebitwetoolodde
Ebisolo n’ebinyonyi
Ensolo ezimu zirya kasooli. Ebinyonyi birya obulo. Abalimi basala amagezi okubigoba. Ebinyonyi
bibuuka okwetaasa. Ensolo ezimu zidduka ate endala zirinnya emiti. Olwo ebirime ne bikula bulungi nga byetaaya. Abalimi babikungula, babirya era babitundako.
74
74
Term 2 Week 2 Day 3
Ebisolo ebya bulijjo
Ebigambo byaffe mbuzi
kubiika
nkoko
kulya
mbwa
kusula
Okuzimba emboozi Embuzi erya omuddo. Embuzi erya muddo ki? Enkoko ekookolima. Enkoko ekookolimira ki? Ekiwuugulu kiwuugula. Ekiwuugulu kiwuugulira ki?
Term 2 Week 2 Day 4
75
75
Ebitwetoolodde
Ebisolo n’ebinyonyi Ewaffe waliyo ebisolo, waliyo ebinyonyi. Ebimu
bibeera waka, ebirala bibeera mu nsiko. Ebisolo
ebimu bituyamba okukuuma awaka. Ebirala bituwa ennyama. Ebinyonyi ebimu bituwa amagi. Oluusi tubitunda ne tufuna ensimbi. Kyokka ebimu byonoona ebirime.
Ensolo ezimu zirya kasooli. Ebinyonyi birya obulo. Abalimi basala amagezi okubigoba. Ebinyonyi
bibuuka okwetaasa. Ensolo ezimu zidduka ate endala zirinnya emiti. Olwo ebirime ne bikula bulungi nga byetaaya. Abalimi babikungula, babirya era babitundako.
76
76
Term 2 Week 2 Day 5
Ebisolo ebya bulijjo
Okwejjukanya yamba
ki-tu-yamba bi-tu-yamba
kituyamba bituyamba
labula
____________
__________
wa
____________
__________
Embuzi erya omuddo. Embuzi erya muddo ki? Embaata ebiika amagi. Ente esula mu kiraalo.
Term 2 Week 2 Day 5
77
77
Ebitwetoolodde
Bannange ebiwuka
Nagawa ne Lule baagala nnyo okuzannyisa
ebiwuka. Beetegereza emitwe gyabyo. Beetegereza amagulu gaabyo. Mu biwuka mulimu enswa,
ebiwojjolo, enseenene, ebinyomo. Ebiwuka ebimu
bya mugaso era tubirya. Ebiwuka ebirala n’ebimera ebimu bya bulabe gye tuli.
78
78
Term 2 Week 3 Day 1
Ebiwuka n’ebimera ebya bulijjo
Ebigambo byaffe biwuka
busagisagi
nswa
mugaso
nseenene
kuzannyisa
Okuzimba ebigambo biwuka
e-biwuka o-buwuka
ebiwuka obuwuka
nseenene
e-nseenene o-buseenene
enseenene obuseenene
nswa
e-nswa o-buswa
enswa obuswa
Term 2 Week 3 Day 2
79
79
Ebitwetoolodde
Bannange ebiwuka
Nagawa ne Lule bali mu mmwanyi banoga. Mu mmwanyi mulimu obusagisagi. Mu mmwanyi
mulimu enjuki ne kamyu. Kamyu ayokya Lule.
Enjuki eruma Nagawa. Lule ne Nagawa bakaaba. Taata abawulira. Afuuyira emmwanyi, obulabe buvaawo.
80
80
Term 2 Week 3 Day 3
Ebiwuka n’ebimera ebya bulijjo
Ebigambo byaffe njuki
mpafu
nabbubi
kumulisa
kiyenje
kubuuka
Okuzimba emboozi Enjuki zigenda ku bimuli. Lwaki enjuki zigenda ku bimuli? Nabbubi tabuuka. Lwaki nabbubi tabuuka? Emmwanyi zimulisa. Lwaki emmwanyi zimulisa?
Term 2 Week 3 Day 4
81
81
Ebitwetoolodde
Bannange ebiwuka Nagawa ne Lule baagala nnyo okuzannyisa
ebiwuka. Beetegereza emitwe gyabyo. Beetegereza amagulu gaabyo. Mu biwuka mulimu enswa,
ebiwojjolo, enseenene, ebinyomo. Ebiwuka ebimu
bya mugaso era tubirya. Ebiwuka ebirala n’ebimera ebimu bya bulabe gye tuli.
Nagawa ne Lule bali mu mmwanyi banoga. Mu mmwanyi mulimu obusagisagi. Mu mmwanyi
mulimu enjuki ne kamyu. Kamyu ayokya Lule.
Enjuki eruma Nagawa. Lule ne Nagawa bakaaba. Taata abawulira. Afuuyira emmwanyi, obulabe buvaawo.
82
82
Term 2 Week 3 Day 5
Ebiwuka n’ebimera ebya bulijjo
Okwejjukanya biwuka
e-biwuka o-buwuka
ebiwuka obuwuka
nkoko
_________
_________
miti
_________
_________
Enjuki zigenda ku bimuli. Lwaki enjuki zigenda ku bimuli? Ennumba ziruma abantu. Enseenene zeekweka.
Term 2 Week 3 Day 5
83
83
Ebintu bye tukola
Abatuuze abakozi
Mu kyalo Kito waliyo abaweesi, ababazzi,
abatunzi, ababumbi, abalusi. Taata wa Lule ne Nagawa mubazzi. Maama waabwe ye mulusi.
Aluka ebibbo era aluka emikeeka. Ebintu ebimu babikozesa awaka ebirala babitunda. Abaguzi abamu tebabasasula bulungi.
84
84
Term 2 Week 4 Day 1
Ebintu bye tukola mu kitundu kyaffe
Ebigambo byaffe kuluka
kukola
kutunda
batuuze
kubajja
bakozi
Okuzimba ebigambo tunda
a-bi-tunda ba-bi-tunda
abitunda babitunda
kola
a-bi-kola ba-bi-kola
abikola babikola
kozesa
a-bi-kozesa ba-bi-kozesa
abikozesa babikozesa
Term 2 Week 4 Day 2
85
85
Ebintu bye tukola
Abatuuze abakozi
Bazadde ba Lule ne Nagawa bafuna obuzibu.
Abantu abatabasasula basuula edduuka lyabwe. Beebuuza ku Ssentebe ekyokukola. Ssentebe
alagira be babanja basasule mu bwangu. Abantu babasasula. Edduuka litinta.
86
86
Term 2 Week 4 Day 3
Ebintu bye tukola mu kitundu kyaffe
Ebigambo byaffe ekibbo
kigumu
omukeeka
kirungi
akatto
kigonda
Okuzimba emboozi Ekibbo kigumu nnyo. Ebibbo bigumu nnyo. Omukeeka gulabika bulungi. Emikeeka girabika bulungi. Akatto kagonda nnyo. Obutto bugonda nnyo.
Term 2 Week 4 Day 4
87
87
Ebintu bye tukola
Abatuuze abakozi Mu kyalo Kito waliyo abaweesi, ababazzi,
abatunzi, ababumbi, abalusi. Taata wa Lule ne Nagawa mubazzi. Maama waabwe ye mulusi.
Aluka ebibbo era aluka emikeeka. Ebintu ebimu babikozesa awaka ebirala babitunda. Abaguzi abamu tebabasasula bulungi.
Bazadde ba Lule ne Nagawa bafuna obuzibu.
Abantu abatabasasula basuula edduuka lyabwe. Beebuuza ku Ssentebe ekyokukola. Ssentebe
alagira be babanja basasule mu bwangu. Abantu babasasula. Edduuka litinta.
88
88
Term 2 Week 4 Day 5
Ebintu bye tukola mu kitundu kyaffe
Okwejjukanya tunda
a-bi-tunda ba-bi-tunda
abitunda babitunda
soma
__________
_________
buuka
__________
_________
Ekibbo kigumu nnyo. Ebibbo bigumu nnyo. Ekitabo kiyonjo nnyo. Ekiwempe kinene nnyo.
Term 2 Week 4 Day 5
89
89
Ebintu bye tukola
Ebikozesebwa
Mu kitundu kyaffe mulimu ebintu bingi bye tukozesa. Abazimbi bakozesa amatoffaali,
omusenyu, emiti. Maama aluka ebibbo. Maama aluka ebitambaala. Lule ne Nagawa bakola
ebyemikono ku ssomero. Abalenzi baluka ebirago. Abawala baluka emikeeka. Ebikozesebwa tebirabika.
90
90
Term 2 Week 5 Day 1
Ebintu bye tukozesa ne gye biva
Ebigambo byaffe lutobazi
toffaali
muti
kikondo
musumaali
bbaati
Okuzimba ebigambo musumaali
mu-sumaali mi-sumaali
musumaali misumaali
muti
mu-ti mi-ti
muti miti
mukono
mu-kono mi-kono
mukono mikono
Term 2 Week 5 Day 2
91
91
Ebintu bye tukola
Ebikozesebwa
Omusomesa atuma abayizi ebikozesebwa. Abawala abatuma ensansa. Abalenzi abatuma ebyayi. Lule
anona ebyayi mu lusuku. Nagawa amuwerekerako. Maama talina wuzi. Maama agula ewuzi ku dduuka. Bonna bafuna ebikozesebwa.
92
92
Term 2 Week 5 Day 3
Ebintu bye tukozesa ne gye biva
Ebigambo byaffe njulu
lusuku
bbumba
kisenyi
bitoogo
mugga
Okuzimba emboozi Nalule yayanika enjulu. Nalule teyayanika njulu. Omwana yasima ebbumba mu lutobazi. Omwana teyasima bbumba mu lutobazi. Omulenzi yakima ebitoogo mu mugga. Omulenzi teyakima bitoogo mu mugga.
Term 2 Week 5 Day 4
93
93
Ebintu bye tukola
Ebikozesebwa Mu kitundu kyaffe mulimu ebintu bingi bye tukozesa. Abazimbi bakozesa amatoffaali,
omusenyu, emiti. Maama aluka ebibbo. Maama aluka ebitambaala. Lule ne Nagawa bakola
ebyemikono ku ssomero. Abalenzi baluka ebirago. Abawala baluka emikeeka. Ebikozesebwa tebirabika.
Omusomesa atuma abayizi ebikozesebwa. Abawala abatuma ensansa. Abalenzi abatuma ebyayi. Lule
anona ebyayi mu lusuku. Nagawa amuwerekerako. Maama talina wuzi. Maama agula ewuzi ku dduuka. Bonna bafuna ebikozesebwa.
94
94
Term 2 Week 5 Day 5
Ebintu bye tukozesa ne gye biva
Okwejjukanya musumaali
mu-sumaali mi-sumaali
musumaali misumaali
muvule
__________
__________
musizi
__________
__________
Nalule yayanika enjulu. Nalule teyayanika njulu. Omuzimbi yazimbisa matoffaali. Taata yaseresa mabaati.
Term 2 Week 5 Day 5
95
95
Ebintu bye tukola
Ebyemikono byaffe
Ebintu bye tukola mu kitundu kyaffe tubifunamu emigaso. Ebiruke, ebitunge, ebibumbe
tubyeyambisa awaka. Oluusi tubitunda ne
tufunamu ensimbi. Waliwo bye tuluka nga
byakuzannyisa. Ebirala tubitimba ne binyiriza awaka. Ebintu byonna bye tukola bitumbula
embeera zaffe. Wabula abantu bangi babidibizza.
96
96
Term 2 Week 6 Day 1
Emigaso gy’ebintu bye tukola
Ebigambo byaffe migaso
kitunge
kiruke
kibajje
kibumbe
kyakuzannyisa
Okuzimba ebigambo kiruke
ki-ruke bi-ruke
kiruke biruke
kibumbe
ki-bumbe bi-bumbe
kibumbe bibumbe
kitimbibwa
ki-timbibwa bi-timbibwa
kitimbibwa bitimbibwa
Term 2 Week 6 Day 2
97
97
Ebintu bye tukola
Ebyemikono byaffe
Ebintu bye tukola mu kitundu kyaffe bitujjukiza ebyobuwangwa bwaffe. Ebibbo, emikeeka,
endeku, ebinu, amaato, byonna byabuwangwa. Ebyobuwangwa biyamba okutumbula ekitundu kyaffe. Abantu bafuna obukugu mu kukola
ebyemikono. Abayizi bayiga ebyemikono mu
masomero. Abayizi boolesa ebyemikono bingi.
Okwolesa kutuyamba okuyiga abalala bye bakola.
98
98
Term 2 Week 6 Day 3
Emigaso gy’ebintu bye tukola
Ebigambo byaffe kutuula
kutereka
kufumba
kuluka
kubuuka
ntamu
Okuzimba emboozi Nja kutuula ku mukeeka. Tujja kutuula ku mukeeka. Nja kufumbira mu ntamu. Tujja kufumbira mu ntamu. Nja kubuuka omuguwa. Tujja kubuuka omuguwa.
Term 2 Week 6 Day 4
99
99
Ebintu bye tukola
Ebyemikono byaffe Ebintu bye tukola mu kitundu kyaffe tubifunamu emigaso. Ebiruke, ebitunge, ebibumbe
tubyeyambisa awaka. Oluusi tubitunda ne
tufunamu ensimbi. Waliwo bye tuluka nga
byakuzannyisa. Ebirala tubitimba ne binyiriza awaka. Ebintu byonna bye tukola bitumbula
embeera zaffe. Wabula abantu bangi babidibizza. Ebintu bye tukola mu kitundu kyaffe bitujjukiza ebyobuwangwa bwaffe. Ebibbo, emikeeka,
endeku, ebinu, amaato, byonna byabuwangwa. Ebyobuwangwa biyamba okutumbula ekitundu kyaffe. Abantu bafuna obukugu mu kukola
ebyemikono. Abayizi bayiga ebyemikono mu
masomero. Abayizi boolesa ebyemikono bingi.
Okwolesa kutuyamba okuyiga abalala bye bakola.
100
100
Term 2 Week 6 Day 5
Emigaso gy’ebintu bye tukola
Okwejjukanya kiruke
ki-ruke bi-ruke
kiruke biruke
kizimbe
__________
___________
kikolebwa
__________
___________
Nja kutuula ku mukeeka. Tujja kutuula ku mukeeka. Nja kukola emirimu. Nja kubumba ensuwa.
Term 2 Week 6 Day 5
101
101
Entambula mu kitundu kyaffe
Entambula mu Kito
Ekyalo Kito kikulaakulana nnyo. Abantu baayo
balina amayumba amalungi. Balina amalwaliro
amalungi. Balina amasomero amanene. Bakozesa emmotoka, eggaali ne pikipiki mu kutambula. Entambula eno ebayamba okukola emirimu. Wabula enguudo zaabwe mbi nnyo.
102
102
Term 2 Week 7 Day 1
Emigaso gy’entambula
Ebigambo byaffe kikulaakulana
malungi
entambula
kuyamba
kupika
nguudo
Okuzimba ebigambo yamba
ba-yamba te-ba-yamba
bayamba tebayamba
vuga
ba-vuga te-ba-vuga
bavuga tebavuga
faayo
ba-faayo te-ba-faayo
bafaayo tebafaayo
Term 2 Week 7 Day 2
103
103
Entambula mu kitundu kyaffe
Entambula mu Kito
Abantu bo mu Kito beemulugunya. Abakulembeze tebafaayo kukola nguudo. Ssentebe ajja era
ayogera nabo. Bamubuulira enguudo ezisinga
okubeera embi. Bamutegeeza nti abantu abaliko obulemu basanga obuzibu. Ssentebe aweereza
kalakita era eddaabiriza enguudo ne zirongooka.
104
104
Term 2 Week 7 Day 3
Emigaso gy’entambula
Ebigambo byaffe kulinnya
kusaabala
kuvuga
mmotoka
kubuuka
ggaali
Okuzimba emboozi Ojja kulinnya emmotoka. Mujja kulinnya emmotoka. Ojja kuvuga eggaali. Mujja kuvuga eggaali. Ojja kubuukira mu nnyonyi. Mujja kubuukira mu nnyonyi.
Term 2 Week 7 Day 4
105
105
Entambula mu kitundu kyaffe
Entambula mu Kito Ekyalo Kito kikulaakulana nnyo. Abantu baayo
balina amayumba amalungi. Balina amalwaliro
amalungi. Balina amasomero amanene. Bakozesa emmotoka, eggaali ne pikipiki mu kutambula. Entambula eno ebayamba okukola emirimu. Wabula enguudo zaabwe mbi nnyo.
Abantu bo mu Kito beemulugunya. Abakulembeze tebafaayo kukola nguudo. Ssentebe ajja era
ayogera nabo. Bamubuulira enguudo ezisinga
okubeera embi. Bamutegeeza nti abantu abaliko obulemu basanga obuzibu. Ssentebe aweereza
kalakita era eddaabiriza enguudo ne zirongooka.
106
106
Term 2 Week 7 Day 5
Emigaso gy’entambula
Okwejjukanya yamba
ba-yamba te-ba-yamba
bayamba tebayamba
buuka
__________
__________
zannya
__________
__________
Ojja kulinnya emmotoka. Mujja kulinnya emmotoka. Ojja kusaabalira mu lyato. Ojja kugendera mu ggaali y’omukka. Term 2 Week 7 Day 5
107
107
Entambula mu kitundu kyaffe
Okwewala obubenje ku nguudo
Kirungi nnyo okumanya engeri ennungi gye
tusalamu oluguudo. Buli muntu alina okugoberera amateeka. Oteekwa okwetegereza obubonero
obuli ku luguudo. Nga tonnasala luguudo, yimirira. Tunula ku mukono gwo ogwa ddyo. Tunula ku mukono gwo ogwa kkono. Ddamu otunule ku
mukono gwo ogwa ddyo, olyoke osale. Tozannyira mu luguudo naye kozesa obukubo obwe bbali.
108
108
Term 2 Week 8 Day 1
Obukuumi ku nguudo
Ebigambo byaffe luguudo
kakubo
kabonero
mukono
tteeka
kabenje
Okuzimba ebigambo zannya
o-zannya to-zannya
ozannya tozannya
kola
o-kola to-kola
okola tokola
tambula
o-tambula to-tambula
otambula totambula
Term 2 Week 8 Day 2
109
109
Entambula mu kitundu kyaffe
Okwewala obubenje ku nguudo
Okusalira oluguudo mu masaŋŋanzira oba mu kkoona kya bulabe. Nga tonnamalayo kasozi, oba tolengera mmotoka ejja. Okusalira awali
emmotoka ezirippaganye kyakabi. Okulundira
ebisolo mu luguudo kyamutawaana. Kya bulabe
nnyo okukasukira emmotoka amayinja oba ebintu
ebirala. Tulina okwegendereza obutafuna bubenje ku nguudo.
110
110
Term 2 Week 8 Day 3
Obukuumi ku nguudo
Ebigambo byaffe kusala
kutambulira
kwetegereza
ebitaala
kwegendereza
ekkubo
Okuzimba emboozi Nalule yeetegereza ebitaala. Nalule ajja kwetegereza ebitaala. Nakato yegendereza ng’asala ekkubo. Nakato ajja kwegendereza ng’asala ekkubo. Namutebi atambulira bbali wa kkubo. Namutebi ajja kutambulira bbali wa kkubo.
Term 2 Week 8 Day 4
111
111
Entambula mu kitundu kyaffe
Okwewala obubenje ku nguudo Kirungi nnyo okumanya engeri ennungi gye
tusalamu oluguudo. Buli muntu alina okugoberera amateeka. Oteekwa okwetegereza obubonero
obuli ku luguudo. Nga tonnasala luguudo, yimirira. Tunula ku mukono gwo ogwa ddyo. Tunula ku mukono gwo ogwa kkono. Ddamu otunule ku
mukono gwo ogwa ddyo, olyoke osale. Tozannyira mu luguudo naye kozesa obukubo obwe bbali.
Okusalira oluguudo mu masaŋŋanzira oba mu kkoona kyabulabe. Nga tonnamalayo kasozi,
oba tolengera mmotoka ejja. Okusalira awali
emmotoka ezirippaganye kya kabi. Okulundira
ebisolo mu luguudo kya mutawaana. Kya bulabe
nnyo okukasukira emmotoka amayinja oba ebintu
ebirala. Tulina okwegendereza obutafuna bubenje ku nguudo.
112
112
Term 2 Week 8 Day 5
Obukuumi ku nguudo
Okwejjukanya zannya sala
o-zannya to-zannya __________
ozannya tozannya __________
tunula
__________
__________
Nalule yeetegereza ebitaala. Nalule ajja kwetegereza ebitaala. Musisi asala bulungi oluguudo. Ssali alaba emmotoka.
Term 2 Week 8 Day 5
113
113
Entambula mu kitundu kyaffe
Akabenje
Lule ne Nagawa bagenda ku ssomero. Bakozesa entambula ya ggaali. Lule aweese Nagawa ku
ggaali. Mu kkubo mulimu ebinnya. Eggaali egwa
mu kinnya. Lule ne Nagawa bagwa mu mufulejje. Omufulejje gujjudde amazzi.
114
114
Term 2 Week 9 Day 1
Ebintu eby’obulabe ku nguudo
Ebigambo byaffe binnya
ggaali
mazzi
ntambula
mufulejje
gujjudde
Okuzimba ebigambo kidduka
ki-dduka bi-dduka
kidduka bidduka
kigwo
ki-gwo bi-gwo
kigwo bigwo
kinnya
ki-nnya bi-nnya
kinnya binnya
Term 2 Week 9 Day 2
115
115
Entambula mu kitundu kyaffe
Akabenje
Omuserikale wo ku nguudo alengera Lule ne
Nagawa nga bagwa mu mufulejje. Omuserikale
abayamba. Abalenzi nabo babayamba. Babajja mu mufulejje. Omuserikale abawa amagezi okuvuga nga beegendereza. Lule avuga eggaali ye nga yeegendereza.
116
116
Term 2 Week 9 Day 3
Ebintu eby’obulabe ku nguudo
Ebigambo byaffe kutomera
kalippagano
kuseerera
kukulubuka
kugwa
lukululana
Okuzimba emboozi Eggaali ejja kugwa. Eggaali zijja kugwa. Pikipiki ejja kuseerera. Pikipiki zijja kuseerera. Lukululana ejja kutomera abaana. Lukululana zijja kutomera abaana.
Term 2 Week 9 Day 4
117
117
Entambula mu kitundu kyaffe
Akabenje Lule ne Nagawa bagenda ku ssomero. Bakozesa entambula ya ggaali. Lule aweese Nagawa ku
ggaali. Mu kkubo mulimu ebinnya. Eggaali egwa
mu kinnya. Lule ne Nagawa bagwa mu mufulejje. Omufulejje gujjudde amazzi.
Omuserikale wo ku nguudo alengera Lule ne
Nagawa nga bagwa mu mufulejje. Omuserikale
abayamba. Abalenzi nabo babayamba. Babajja mu mufulejje. Omuserikale abawa amagezi okuvuga nga beegendereza. Lule avuga eggaali ye nga yeegendereza.
118
118
Term 2 Week 9 Day 5
Ebintu eby’obulabe ku nguudo
Okwejjukanya kinnya
kinnya binnya
kinnya binnya
kigaali
__________
__________
kimuli
__________
__________
Eggaali ejja kugwa. Eggaali zijja kugwa. Loole ejja kuseerera. Emmotoka ejja kutomera abaana. Term 2 Week 9 Day 5
119
119
Okwekuuma obubenje
Amakubo amabi
Mu kitundu kya ba Nagawa ne Lule balina amakubo agalimu ebisirikko. Amakubo gano galeeta
obubenje. Ebidduka bikoona abantu. Abantu
banyiivu nnyo kubanga amakubo mabi. Leero
ku makya pikipiki ekoonye omulenzi. Omulenzi
amenyese okugulu. Omuvuzi wa pikipiki adduse.
120
120
Term 2 Week 10 Day 1
Ebireeta obubenje mu kitundu kyaffe
Ebigambo byaffe bikoona
musaayi
bisirikko
bidduka
galeeta
bulagajjavu
Okuzimba ebigambo leeta
li-reeta ga-leeta
lireeta galeeta
genda
li-genda ga-genda
ligenda gagenda
yamba
li-yamba ga-yamba
liyamba gayamba
Term 2 Week 10 Day 2
121
121
Okwekuuma obubenje
Amakubo amabi
Abawala bayamba omulenzi. Bamusitula ne
bamutwala mu ddwaliro. Basanga omusawo
ayigiriza ku bulwadde bwa ssiriimu. Oluvannyuma omusawo akebera omulenzi. Amuwa ekitanda.
Amusiba bandegi era amuwa eddagala. Abasawo bamubuulirira okwegendereza ennyo.
122
122
Term 2 Week 10 Day 3
Ebireeta obubenje mu kitundu kyaffe
Ebigambo byaffe eggirita
akambe
eddagala
empiso
obutwa
embazzi
Okuzimba emboozi Omusomesa yatugambye nti okuzannyisa eggirita kibi. Omusomesa yatugambye, “Okuzannyisa eggirita kibi.” Omusawo yatugambye nti eddagala likuumibwa abaana we batatuuka. Omusawo yatugambye, “Eddagala likuumibwa abaana we batatuuka.” Taata yatugambye nti obutwa bw’emmese tetubuteeka kumpi na byakulya. Taata yatugambye, “Obutwa bw’emmese temubuteeka kumpi na byakulya.”
Term 2 Week 10 Day 4
123
123
Okwekuuma obubenje
Amakubo amabi Mu kitundu kya ba Nagawa ne Lule balina amakubo agalimu ebisirikko. Amakubo gano galeeta
obubenje. Ebidduka bikoona abantu. Abantu
banyiivu nnyo kubanga amakubo mabi. Leero
ku makya pikipiki ekoonye omulenzi. Omulenzi
amenyese okugulu. Omuvuzi wa pikipiki adduse. Abawala bayamba omulenzi. Bamusitula ne
bamutwala mu ddwaliro. Basanga omusawo
ayigiriza ku bulwadde bwa ssiriimu. Oluvannyuma omusawo akebera omulenzi. Amuwa ekitanda.
Amusiba bandegi era amuwa eddagala. Abasawo bamubuulirira okwegendereza ennyo.
124
124
Term 2 Week 10 Day 5
Ebireeta obubenje mu kitundu kyaffe
Okwejjukanya leeta
li-reeta ga-leeta
lireeta galeeta
kooya
___________
__________
kola
___________
__________
Omusomesa yatugambye nti okuzannyisa eggirita kibi. Omusomesa yatugambye, “Okuzannyisa eggirita kibi.” Omupuliisi yatugambye nti twekuume obubenje. Omupuliisi yatugambye, “____________________” Kojja yatugambye nti amasannyalaze gakuba. Kojja yatugambye, “________________________” Term 2 Week 10 Day 5
125
125
Okwekuuma obubenje
Obulabe ku ssomero
Lule ne mikwano gye banyumirwa akapiira. Abaana bano bazannyira akapiira emabega w’ekibiina.
Mukwano gwa Lule aseerera era agwa. Ekicupa
kimusala ekigere. Avaamu omusaayi mungi. Banne batya ne badduka.
126
126
Term 2 Week 11 Day 1
Obubenje n’obujjanjabi obusookerwako
Ebigambo byaffe banyumirwa
babuukira
bazannyira
kusala
kuseerera
ccupa
Okuzimba ebigambo buuka
ba-buuka ba-buuki-ra
babuuka babuukira
zannya
ba-zannya ba-zannyi-ra
bazannya bazannyira
tambula
ba-tambula ba-tambuli-ra
batambula batambulira
Term 2 Week 11 Day 2
127
127
Okwekuuma obubenje
Obulabe ku ssomero
Mukwano gwa Lule akaaba nnyo era alaajana
bamuyambe. Abawala bafuba okumujjayo. Abantu abalala babalaba ne babayambako. Bamutwala mu kalwaliro akali okumpi. Abasawo bamusiba ebiwundu. Batumya bazadde be bamutwale.
128
128
Term 2 Week 11 Day 3
Obubenje n’obujjanjabi obusookerwako
Ebigambo byaffe omusawo
ppamba
eddwaliro
emmotoka y’abalwadde
empiso
akatanda
Okuzimba emboozi Kato Lule Nagawa baayita omusawo nga Nakato agudde.
Kato, Lule ne Nagawa baayita omusawo nga Nakato agudde. Mu ddwaliro mulimu eddagala ppamba ne empiso. Mu ddwaliro mulimu eddagala, ppamba n’empiso.
Mu mmotoka y’abalwadde mubeeramu akatanda eddagala abasawo ne omuvuzi.
Mu mmotoka y’abalwadde mubeeramu akatanda, eddagala, abasawo n’omuvuzi.
Term 2 Week 11 Day 4
129
129
Okwekuuma obubenje
Obulabe ku ssomero Lule ne mikwano gye banyumirwa akapiira. Abaana bano bazannyira akapiira emabega w’ekibiina.
Mukwano gwa Lule aseerera era agwa. Ekicupa
kimusala ekigere. Avaamu omusaayi mungi. Banne batya ne badduka.
Mukwano gwa Lule akaaba nnyo era alaajana
bamuyambe. Abawala bafuba okumujjayo. Abantu abalala babalaba ne babayambako. Bamutwala mu kalwaliro akali okumpi. Abasawo bamusiba ebiwundu. Batumya bazadde be bamutwale.
130
130
Term 2 Week 11 Day 5
Obubenje n’obujjanjabi obusookerwako
Okwejjukanya buuka
ba-buuka ba-buuki-ra
babuuka babuukira
tunga
___________
___________
jjanjaba
___________
___________
Kato Lule Nagawa baayita omusawo nga Nakato agudde. Kato, Lule ne Nagawa baayita omusawo nga Nakato agudde. Mu kibokisi mulimu empiso ppamba bandegi. Mu nsawo mulimu ebitabo ekkalaamu eccupa.
Term 2 Week 11 Day 5
131
131
132
Olusoma 3
133
Eddembe n’obutebenkevu
Obuvunaanyizibwa
Taata atudde ku katebe awuliriza leediyo. Maama
aluka omukeeka. Awaka tewali mazzi. Taata atuma Nagawa ne Lule ku luzzi. Lule akwata akadomola. Nagawa naye akwata akadomola. Bombi batyayo ku luzzi.
134
134
Term 3 Week 2 Day 1
Obuvunaanyizibwa bw’abakuuma eddembe n’obutebenkevu
Ebigambo byaffe kutuma
kadomola
kukwata
batyayo
luzzi
tewali
Okuzimba ebigambo tuma
a-tuma ba-tuma
atuma batuma
kwata
a-kwata ba-kwata
akwata bakwata
tyayo
a-tyayo ba-tyayo
atyayo batyayo
Term 3 Week 2 Day 2
135
135
Eddembe n’obutebenkevu
Obuvunaanyizibwa
Taata alaba obudde buziba. Taata ayita Lule
ne Nagawa. Ababuuza amazzi. Lule ne Nagawa basaba taata abawerekereko ku luzzi. Taata
akkiriza okubawerekerako. Taata, Lule ne Nagawa baleeta amazzi. Bonna bagakozesa.
136
136
Term 3 Week 2 Day 3
Obuvunaanyizibwa bw’abakuuma eddembe n’obutebenkevu
Ebigambo byaffe abapuliisi
okukuuma
abaamagye
okubuulirira
abasomesa
okugondera
Okuzimba emboozi Abapuliisi batuyamba nnyo. Abapuliisi nga batuyamba nnyo! Abaamagye bamalirivu nnyo. Abaamagye nga bamalirivu nnyo! Abasomesa batukuuma nnyo ku ssomero. Abasomesa nga batukuuma nnyo ku ssomero!
Term 3 Week 2 Day 4
137
137
Eddembe n’obutebenkevu
Obuvunaanyizibwa Taata atudde ku katebe awuliriza leediyo. Maama
aluka omukeeka. Awaka tewali mazzi. Taata atuma Nagawa ne Lule ku luzzi. Lule akwata akadomola. Nagawa naye akwata akadomola. Bombi batyayo ku luzzi.
Taata alaba obudde buziba. Taata ayita Lule
ne Nagawa. Ababuuza amazzi. Lule ne Nagawa basaba taata abawerekereko ku luzzi. Taata
akkiriza okubawerekerako. Taata, Lule ne Nagawa baleeta amazzi. Bonna bagakozesa.
138
138
Term 3 Week 2 Day 5
Obuvunaanyizibwa bw’abakuuma eddembe n’obutebenkevu
Okwejjukanya kwata
a-kwata ba-kwata
akwata bakwata
kuba
___________
__________
soma
___________
__________
Abapuliisi batuyamba nnyo. Abapuliisi nga batuyamba nnyo! Abazadde babuulirira nnyo abaana. Abakulembeze batulabirira nnyo.
Term 3 Week 2 Day 5
139
139
Eddembe n’obutebenkevu
Empisa
Mu Kito Pulayimale abasomesa bayigiriza abaana okutya Katonda. Abaana bayiga empisa ennungi.
Bamanyi okwetonda. Bagondera abakulu. Baagala nnyo okugaba era baagala nnyo okuyamba
bannaabwe. Tebatwala bintu bitali byabwe era
tebakubagana. Lumu omusooli gwa Lule gwabulira mu kibiina. Lule yakaaba.
140
140
Term 3 Week 3 Day 1
Engeri y’okukuuma emirembe n’obutebenkevu
Ebigambo byaffe kugondera
babasinga
kuyamba
kutya
kubuuza
kubba
Okuzimba ebigambo buuza
ba-buuza te-ba-buuza
babuuza tebabuuza
yiga
ba-yiga te-ba-yiga
bayiga tebayiga
yamba
ba-yamba te-ba-yamba
bayamba tebayamba
Term 3 Week 3 Day 2
141
141
Eddembe n’obutebenkevu
Empisa
Abaana baabuuza Lule ekimukaabya. Yabagamba nti kasooli we baamubbye. Omukulu w’ekibiina yabuuza amututte. Abaana bonna beegaana.
Yasalawo okwaza buli nsawo. Kasooli yamusanga mu nsawo ya Kamagu. Lule yasanyuka.
142
142
Term 3 Week 3 Day 3
Engeri y’okukuuma emirembe n’obutebenkevu
Ebigambo byaffe ekitiibwa
okusonyiwa
okwetonda
okwebaza
okugonda
okuyamba
Okuzimba emboozi Olina okuwa abantu ekitiibwa. Mulina okuwa abantu ekitiibwa. Olina okwetonda nga osobezza. Mulina okwetonda nga musobezza. Olina okugondera bazadde bo. Mulina okugondera bazadde bammwe.
Term 3 Week 3 Day 4
143
143
Eddembe n’obutebenkevu
Empisa Mu Kito Pulayimale abasomesa bayigiriza abaana
okutya Katonda. Bayiga empisa ennungi. Bamanyi okwetonda. Bagondera abakulu. Baagala nnyo
okugaba era baagala nnyo okuyamba bannaabwe. Tebatwala bintu bitali byabwe era tebakubagana.
Lumu omusooli gwa Lule gwabulira mu kibiina. Lule yakaaba.
Abaana baabuuza Lule ekimukaabya. Yabagamba nti kasooli we baamubbye. Omukulu w’ekibiina yabuuza amututte. Abaana bonna beegaana.
Yasalawo okwaza buli nsawo. Kasooli yamusanga mu nsawo ya Kamagu. Lule yasanyuka.
144
144
Term 3 Week 3 Day 5
Engeri y’okukuuma emirembe n’obutebenkevu
Okwejjukanya buuza
ba-buuza te-ba-buuza
babuuza tebabuuza
twala
__________
__________
kuba
__________
__________
Olina okuwa abantu ekitiibwa. Mulina okuwa abantu ekitiibwa. Olina okwetondera banno. Olina okuyamba abalala.
Term 3 Week 3 Day 5
145
145
Obukuumi bw’abaana
Obukuumi ku ssomero
O KIT ALE YIM LA ” PU UBA “F
Olukomera lwa Kito pulayimale lulimu ebituli.
Ebisolo biyingira mu ssomero. Essomero teririna bakuumi. Omulaalo alundisa abayizi ebisolo.
Abayizi bagoberera ente. Basangayo omusajja. Omusajja oyo agezaako okubba Nagawa.
146
146
Term 3 Week 4 Day 1
Obuvunaanyizibwa bw’abaana n’okutyoboola eddembe lyabwe
Ebigambo byaffe lukomera
kugoberera
kusaddaaka
kuyingira
kulunda
bakuumi
Okuzimba ebigambo yingira
ya-yingira baa-yingira
yayingira baayingira
gezaako
ya-gezaako baa-gezaako
yagezaako baagezaako
goberera
ya-goberera baa-goberera
yagoberera baagoberera
Term 3 Week 4 Day 2
147
147
Obukuumi bw’abaana
Obukuumi ku ssomero
Abaana baloopa bannaabwe abaagoberedde
ente. Akade kavuga, abayizi bakuŋŋaana. Abayizi bawulira abaana abaleekaana mu kiwonvu.
Abasomesa abamu babadduukirira. Basanga omusajja ayagala okubba Nagawa adduse.
Abasomesa bakomyawo abaana bonna. Baziba ebituli mu lukomera.
148
148
Term 3 Week 4 Day 3
Obuvunaanyizibwa bw’abaana n’okutyoboola eddembe lyabwe
Ebigambo byaffe okutambula ekiro
okulwana
nzekka
okulemala
okukuba
eddembe
Okuzimba emboozi Ssinga ntambula nzekka ekiro, nnyinza okufuna obulabe. Ssinga tutambula fekka ekiro, tuyinza okufuna obulabe. Ssinga nkuba omwana, nnyinza okumulemaza. Ssinga tukuba abaana, tuyinza okubalemaza. Ssinga nwana, nnyinza okufuna olubale.
Ssinga tulwana, tuyinza okufuna embale.
Term 3 Week 4 Day 4
149
149
Obukuumi bw’abaana
Obukuumi ku ssomero Olukomera lwa Kito pulayimale lulimu ebituli.
Ebisolo biyingira mu ssomero. Essomero teririna bakuumi. Omulaalo alundisa abayizi ebisolo.
Abayizi bagoberera ente. Basangayo omusajja. Omusajja oyo agezaako okubba Nagawa.
Abaana baloopa bannaabwe abaagoberedde
ente. Akade kavuga, abayizi bakuŋŋaana. Abayizi bawulira abaana abaleekaana mu kiwonvu.
Abasomesa abamu babadduukirira. Basanga omusajja ayagala okubba Nagawa adduse.
Abasomesa bakomyawo abaana bonna. Baziba ebituli mu lukomera.
150
150
Term 3 Week 4 Day 5
Obuvunaanyizibwa bw’abaana n’okutyoboola eddembe lyabwe
Okwejjukanya yingira
ya-yingira
yayingira
baa-yingira
baayingira
tambula
___________
___________
kuba
___________
___________
Ssinga ntambula nzekka ekiro, nnyinza okufuna obulabe. Ssinga tutambula fekka ekiro, tuyinza okufuna obulabe. Ssinga ndya emmere enkyafu, nnyinza okulwala. Ssinga nsoma bubi, nnyinza okukaaba.
Term 3 Week 4 Day 5
151
151
Obukuumi bw’abaana
Obulagajjavu
Kamagu mukwano gwa Lule ne Nagawa. Bazadde be baamummanga emmere era nga bamukuba.
Kamagu yalwala era yakonziba. Nagawa ne Lule
baamuwerekera mu ddwaliro. Omusawo yakizuula
nti Kamagu yali bubi nnyo era yamuwa obujjanjabi. Omusawo yaloopa ensonga ezo ku puliisi.
152
152
Term 3 Week 5 Day 1
Ebiva mu kutyoboola eddembe ly’abaana
Ebigambo byaffe ddembe
kutyoboola
kukonziba
kulwala
musawo
bulagajjavu
ddagala
Okuzimba ebigambo musawo
o-mu-sawo a-ba-sawo
omusawo abasawo
mukazi
o-mu-kazi a-ba-kazi
omukazi abakazi
mulwadde
o-mu-lwadde a-ba-lwadde
omulwadde abalwadde
Term 3 Week 5 Day 2
153
153
Obukuumi bw’abaana
Obulagajjavu
Puliisi yatwala Kamagu ewaabwe. Bazadde be olwalaba puliisi ne badduka. Kamagu yasaba puliisi emukkirize abeere ewa ba Lule. Puliisi
yasaba bazadde ba Lule babeere ne Kamagu era ne bakkiriza. Kamagu yaddangayo mu ddwaliro okumujjanjaba. Kamagu yawona bulungi.
154
154
Term 3 Week 5 Day 3
Ebiva mu kutyoboola eddembe ly’abaana
Ebigambo byaffe okulemala
okutya
okukuba
okulwana
okuboggola
okwokya
Okuzimba emboozi Bw’okuba omwana, omulemaza. Bw’onookuba omwana, ojja kumulemaza. Bw’oboggolera omwana, omutiisa. Bw’onooboggolera omwana, ojja kumutiisa. Bw’otiisa omwana, omulwaza. Bw’onootiisa omwana, ojja kumulwaza.
Term 3 Week 5 Day 4
155
155
Obukuumi bw’abaana
Obulagajjavu Kamagu mukwano gwa Lule ne Nagawa. Bazadde be baamummanga emmere era nga bamukuba.
Kamagu yalwala era yakonziba. Nagawa ne Lule
baamuwerekera mu ddwaliro. Omusawo yakizuula
nti Kamagu yali bubi nnyo era yamuwa obujjanjabi. Omusawo yaloopa ensonga ezo ku puliisi.
Puliisi yatwala Kamagu awaabwe. Bazadde be olwalaba puliisi ne badduka. Kamagu yasaba puliisi emukkirize abeere ewa ba Lule. Puliisi yasaba bazadde ba Lule babeere ne Kamagu era ne bakkiriza. Yaddangayo mu ddwaliro okumujjanjaba. Kamagu yawona bulungi.
156
156
Term 3 Week 5 Day 5
Ebiva mu kutyoboola eddembe ly’abaana
Okwejjukanya musawo
o-mu-sawo a-ba-sawo
omusawo abasawo
mulenzi
___________
___________
muyizi
___________
___________
Bw’okuba omwana, omulemaza. Bw’onookuba omwana, ojja kumulemaza. Bw’omma omwana emmere, omukozza. Bw’onoomma omwana emmere. Bw’ovuma omwana, omwerariikiriza. Bw’onoovuma omwana. Term 3 Week 5 Day 5
157
157
Obukuumi bw’abaana
Atambula yekka
Lule ne Nagawa bava ku ssomero. Nagawa
atambula mpola. Lule amuleka. Nagawa atambula yekka. Mu kkubo mutera okubaamu abantu ababi. Lule ne banne baloopa Nagawa eka. Maama atya nnyo.
158
158
Term 3 Week 6 Day 1
Enkuuma y’abaana
Ebigambo byaffe bava
kuloopa
yekka
kutambula
kuleka
wamu
Okuzimba ebigambo va
a-li-va ba-li-va
aliva baliva
loopa
a-li-roopa ba-li-roopa
aliroopa baliroopa
tya
a-li-tya ba-li-tya
alitya balitya
Term 3 Week 6 Day 2
159
159
Obukuumi bw’abaana
Atambula yekka
Maama akubira omusomesa essimu. Amubuulira nti Nagawa atambula yekka. Omusomesa mu
kusomesa alaga ekifaananyi. Ekifaananyi kiraga
omwana eyakubibwa abantu ababi. Abaana batya nnyo ne batunuulira Nagawa. Nagawa naye atya nnyo. Omusomesa abakuutira okutambulira awamu.
160
160
Term 3 Week 6 Day 3
Enkuuma y’abaana
Ebigambo byaffe kukuuma
kutaasa
kwagala
kulabula
kuyamba
kubuulirira
Okuzimba emboozi Taata akuuma abaana be. Taata yakuumanga abaana be. Maama ayagala abaana be. Maama yayagalanga abaana be. Baaba ayamba baganda be. Baaba yayambanga baganda be.
Term 3 Week 6 Day 4
161
161
Obukuumi bw’abaana
Atambula yekka Lule ne Nagawa bava ku ssomero. Nagawa
atambula mpola. Lule amuleka. Nagawa atambula yekka. Mu kkubo mutera okubaamu abantu ababi. Lule ne banne baloopa Nagawa eka. Maama atya nnyo.
Maama akubira omusomesa essimu. Amubuulira nti Nagawa atambula yekka. Omusomesa mu
kusomesa alaga ekifaananyi. Ekifaananyi kiraga
omwana eyakubibwa abantu ababi. Abaana batya nnyo ne batunuulira Nagawa. Nagawa naye atya nnyo. Omusomesa abakuutira okutambulira awamu.
162
162
Term 3 Week 6 Day 5
Enkuuma y’abaana
Okwejjukanya va
a-li-va ba-li-va
aliva baliva
bala
___________
___________
soma
___________
___________
Taata akuuma abaana be. Taata yakuumanga abaana be. Maama aluka omukeeka gwe. Omulenzi asamba akapiira ke.
Term 3 Week 6 Day 5
163
163
Ebipimo
Okukuuma ebiseera
Mu kisenge kya Nagawa ne Lule mulimu essaawa. Akade kaayo kavuga buli lunaku. Akade kavuga
ku ssaawa kkumi na bbiri abaana ne bazuukuka.
Beetegeka ne bagenda ku ssomero ku ssaawa emu. Olumu essaawa yaggwaamu akanda era teyavuga. Ku lunaku olwo abaana baatuuka kikeerezi ku ssomero.
164
164
Term 3 Week 7 Day 1
Ebiseera
Ebigambo byaffe ssaawa
kade
budde
kikeerezi
kitundu
kuzuukuka
Okuzimba ebigambo tegeka
ba-tegeka baa-tegeka
bategeka baategeka
zuukuka
ba-zuukuka baa-zuukuka
bazuukuka baazuukuka
keera
ba-keera baa-keera
bakeera baakeera
Term 3 Week 7 Day 2
165
165
Ebipimo
Okukuuma ebiseera
Omusomesa yabanenya okutuuka ekikeerezi. Abaana baamubuulira nti essaawa yasirise.
Omusomesa yabawa amagezi bakuume obudde. Abaana baddayo eka ne babuulira abazadde.
Taata yagula akanda k’essaawa akalala. Abaana tebaddayo kutuuka kikeerezi.
166
166
Term 3 Week 7 Day 3
Ebiseera
Ebigambo byaffe essaawa
ku makya
omwezi
olweggulo
omwaka
kukeera
Okuzimba emboozi Abaana bajja kuddayo awaka ku ssaawa musanvu. Abaana tebajja kuddayo waka ku ssaawa musanvu. Abawala bajja kuyimba mu mwezi ogujja. Abawala tebajja kuyimba mu mwezi ogujja. Abalenzi bajja kusamba akapiira ku makya. Abalenzi tebajja kusamba kapiira ku makya.
Term 3 Week 7 Day 4
167
167
Ebipimo
Okukuuma ebiseera Mu kisenge kya Nagawa ne Lule mulimu essaawa. Akade kaayo kavuga buli lunaku. Akade kavuga
ku ssaawa kkumi na bbiri abaana ne bazuukuka.
Beetegeka ne bagenda ku ssomero ku ssaawa emu. Olumu essaawa yaggwaamu akanda era teyavuga. Ku lunaku olwo abaana baatuuka kikeerezi ku ssomero.
Omusomesa yabanenya okutuuka ekikeerezi. Abaana baamubuulira nti essaawa yasirise.
Omusomesa yabawa amagezi bakuume obudde. Abaana baddayo eka ne babuulira abazadde.
Taata yagula akanda k’essaawa akalala. Abaana tebaddayo kutuuka kikeerezi.
168
168
Term 3 Week 7 Day 5
Ebiseera
Museenene
Okwejjukanya tegeka keerewa
ba-tegeka baa-tegeka ___________
bategeka baategeka __________
tuuka
___________
__________
Abaana bajja kuddayo awaka ku ssaawa musanvu. Abaana tebajja kuddayo waka ku ssaawa musanvu. Abawala bajja kusoma olugero ku makya. Abawala bajja kwepena mu ttuntu.
Term 3 Week 7 Day 5
169
169
Ebipimo
Sukaali ayiika
MUNNYO
Kojja wa Lule ne Nagawa alina edduuka. Mu
dduuka lye mulimu omunnyo, amafuta, engoye
ne sukaali. Sukaali amupima mu kkiro, amafuta mu liita ate engoye mu mmita. Lule bamutuma
ekitundu kya kkiro ya sukaali. Kojja apima sukaali, amumuwa. Lule atambula ne yeekoona. Sukaali ayiika.
170
170
Term 3 Week 8 Day 1
Ebikozesebwa mu kupima
Ebigambo byaffe kkiro
kupima
liita
dduuka
mmita
kitundu
Okuzimba ebigambo kkiro/sukaali
kkiro ya sukaali kkiro za sukaali
mmita/lugoye
mmita ya lugoye mmita za lugoye
liita/mata
liita y’amata liita z’amata
Term 3 Week 8 Day 2
171
171
Ebipimo
Sukaali ayiika
Lule akomawo awaka. Awa taata sukaali. Taata alaba nga sukaali tawera. Akwata Lule ku
mukono. Baddayo ku dduuka. Balaba sukaali
eyayiise mu kkubo. Taata akubiriza Lule okubeera omwegendereza.
172
172
Term 3 Week 8 Day 3
Ebikozesebwa mu kupima
Ebigambo byaffe omuceere
sukaali
obuwunga
omunnyo
amafuta
olubugo
Okuzimba emboozi Kkiro ya sukaali. Maama yaŋŋamba nti ŋŋende ngule kkiro ya sukaali. Maama yaŋŋamba, “Genda ogule kkiro ya sukaali.” Liita y’amata. Taata yaŋŋamba nti ŋŋende ngule liita y’amata. Taata yaŋŋamba, “Genda ogule liita y’amata.” Mmita y’olugoye. Kojja yaŋŋamba nti ŋŋende ngule mmita y’olugoye. Kojja yaŋŋamba, “Genda ogule mmita y’olugoye.”
Term 3 Week 8 Day 4
173
173
Ebipimo
Sukaali ayiika Kojja wa Lule ne Nagawa alina edduuka. Mu
dduuka lye mulimu omunnyo, amafuta, engoye
ne sukaali. Sukaali amupima mu kkiro, amafuta mu liita ate engoye mu mmita. Lule bamutuma
ekitundu kya kkiro ya sukaali. Kojja apima sukaali, amumuwa. Lule atambula ne yeekoona. Sukaali ayiika.
Lule akomawo awaka. Awa taata sukaali. Taata alaba nga sukaali tawera. Akwata Lule ku
mukono. Baddayo ku dduuka. Balaba sukaali
eyayiise mu kkubo. Taata akubiriza Lule okubeera omwegendereza.
174
174
Term 3 Week 8 Day 5
Ebikozesebwa mu kupima
MUNNYO
Okwejjukanya kkiro/sukaali
kkiro ya sukaali
kkiro za sukaali
kkiro/kawo
________________
liita/mafuta
________________
Maama yaŋŋamba nti ŋŋende ngule kkiro ya sukaali.
Maama yaŋŋamba, “Genda ogule kkiro ya sukaali.” Taata yaŋŋamba nti ŋŋende ngule liita y’amafuta.
Taata yaŋŋamba, ________________________ Omusomesa yaŋŋamba nti ŋŋende ngule mmita y’olubugo. Omusomesa yaŋŋamba, “___________________”
Term 3 Week 8 Day 5
175
175
Ebipimo
Enkula y’ebintu
Nagawa ne Lule bazannya ne bannaabwe. Bazannyira mu kisaawe kya nsonda nnya.
Bazannyisa emipiira myekulungirivu. Emiguwa gyabwe miwanvu. Beegabanya okusinziira ku
buwanvu ne ku buzito bwabwe. Mu buli nsonda ya
kisaawe ne mu makkati mulimu ekibinja ky’abaana. Enkuba etonnya, abaana baseerera.
176
176
Term 3 Week 9 Day 1
Enkula y’ebintu
Ebigambo byaffe nkulungo
buwanvu
nsonda
buzito
masekkati
bugazi
Okuzimba ebigambo nkulungo
ka-kulungo bu-kulungo
kakulungo bukulungo
nsonda
ka-sonda bu- sonda
kasonda busonda
nkuufiira
ka-kuufiira bu-kuufiira
kakuufiira bukuufiira
Term 3 Week 9 Day 2
177
177
Ebipimo
Enkula y’ebintu
Omusomesa atumya omusenyu era atumya
evvu. Abaana babireetera mu bibokisi ne mu
mikebe. Babiyiwa mu kisaawe. Ekisaawe kikala.
Baddamu okudduka nga balina emipiira mu ngalo. Abawanguzi bafuna ebikopo era basanyuka.
178
178
Term 3 Week 9 Day 3
Enkula y’ebintu
Ebigambo byaffe kyange
nsonda
kitono
kimyufu
kyekulungirivu
kyeru
Okuzimba emboozi Omupiira gwange mumyufu. Omupiira gwange mwekulungirivu. Akatambaala kange keeru. Akatambaala kange ka nsonda nnya. Ebbaasa yange njeru. Ebbaasa yange ya nsonda nnya.
Term 3 Week 9 Day 4
179
179
Ebipimo
Enkula y’ebintu Nagawa ne Lule bazannya ne bannaabwe. Bazannyira mu kisaawe kya nsonda nnya.
Bazannyisa emipiira myekulungirivu. Emiguwa gyabwe miwanvu. Beegabanya okusinziira ku
buwanvu ne ku buzito bwabwe. Mu buli nsonda ya
kisaawe ne mu makkati mulimu ekibinja ky’abaana. Enkuba etonnya, abaana baseerera.
Omusomesa atumya omusenyu era atumya evvu. Abaana babireetera mu bibokisi ne mu mikebe.
Abaana babiyiwa mu kisaawe. Ekisaawe kikala.
Baddamu okudduka nga balina emipiira mu ngalo. Abawanguzi bafuna ebikopo era basanyuka.
180
180
Term 3 Week 9 Day 5
Enkula y’ebintu
Okwejjukanya nsonda
ka-sonda bu-sonda
kasonda busonda
ggi
___________
__________
bokisi
___________
__________
Omupiira gwange mumyufu. Omupiira gwange mwekulungirivu. Omucungwa gwange gwa kiragala. Omucungwa gwange________________________ Ensawo yange nzirugavu. Ensawo yange ya___________________________ Term 3 Week 9 Day 5
181
181
Ebisanyusa, emikolo n’empummula
Ebisanyusa ku ssomero
Nagawa ne Lule basomera mu Kito. Ku ssomero
bayigayo okusoma, okuyimba, okuzina, okukuba
ebivuga ne katemba. Omwezi ogujja beetegekera okuyita abazadde. Abazadde bagenda kujja ku mwoleso. Abayizi bagenda kwolesa okuyimba,
okuzina ne katemba. Essomero teririna ŋŋoma, teririna nsaasi era teririna nseege.
182
182
Term 3 Week 10 Day 1
Ebisanyusa awaka ne ku ssomero
Ebigambo byaffe kuzina
bivuga
kwolesa
katemba
kuyimba
kwetegekera
Okuzimba ebigambo yimba
a-yimba mu-yimbi
ayimba muyimbi
zina
a-zina mu-zinyi
azina muzinyi
bumba
a-bumba mu-bumbi
abumba mubumbi
Term 3 Week 10 Day 2
183
183
Ebisanyusa, emikolo n’empummula
Ebisanyusa ku ssomero
Omukulu w’essomero asaba abakulembeze
babagulire ebivuga. Katikkiro abagulira eŋŋoma. Abayizi bonna basanyuka era beetegekera
omwoleso. Ku mwoleso abaana bajja kuzina era
bajja kukuba ebivuga. Abaana bajja kuyimba era bajja kuzannya katemba. Abazadde beesunga olunaku olwo. Abayizi abanaasinga bagenda kufuna sseddume w’ente.
184
184
Term 3 Week 10 Day 3
Ebisanyusa awaka ne ku ssomero
Ebigambo byaffe okuwuga
okukyala
okuzannya
okunaaba
okuwummula
omweso
Okuzimba emboozi Omwana ayagala kuzannyira mu ddiiro. Omwana ayagala kuzannyira wa? Nagawa awummulira wa ssenga. Nagawa awummulira wa? Kato agenda kukyala. Kato agenda wa?
Term 3 Week 10 Day 4
185
185
Ebisanyusa, emikolo n’empummula
Ebisanyusa ku ssomero Nagawa ne Lule basomera mu Kito. Ku ssomero
bayigayo okusoma, okuyimba, okuzina, okukuba
ebivuga ne katemba. Omwezi ogujja beetegekera okuyita abazadde. Abazadde bagenda kujja ku mwoleso. Abayizi bagenda kwolesa okuyimba,
okuzina ne katemba. Essomero teririna ŋŋoma, teririna nsaasi era teririna nseege.
Omukulu w’essomero asaba abakulembeze
babagulire ebivuga. Katikkiro abagulira eŋŋoma. Abayizi bonna basanyuka era beetegekera
omwoleso. Ku mwoleso abaana bajja kuzina era
bajja kukuba ebivuga. Abaana bajja kuyimba era bajja kuzannya katemba. Abazadde beesunga olunaku olwo. Abayizi abanaasinga bagenda kufuna sseddume w’ente.
186
186
Term 3 Week 10 Day 5
Ebisanyusa awaka ne ku ssomero
Okwejjukanya yimba
a-yimba mu-yimbi
ayimba muyimbi
laba
__________
__________
soma
__________
__________
Omwana ayagala kuzannyira mu ddiiro. Omwana ayagala kuzannyira wa? Musoke ava Ntebe. Omwana awugira mu kidiba.
Term 3 Week 10 Day 5
187
187
Ebisanyusa, emikolo n’empummula
Abalongo
Ku kyalo Kito bazaalayo abalongo. Ssaalongo ne Nnaalongo baavu. Tebalina bintu bya kulabirira baana bano. Tebalina ngoye za kwambaza
baana. Tebalina mmere ebamala. Abantu abamu babasaasira okufuna obuvunaanyizibwa obwo. Abantu abalala babasanyukirako.
188
188
Term 3 Week 11 Day 1
Emikolo gy’obuwangwa n’empummula
Ebigambo byaffe kuzaala
Nnaalongo
balongo
kulabirira
Ssaalongo
kutuuma
Okuzimba ebigambo zaala
zaala zaal-ibwa
zaala zaalibwa
tuuma
tuuma tuum-ibwa
tuuma tuumibwa
sinza
sinza sinz-ibwa
sinza sinzibwa
Term 3 Week 11 Day 2
189
189
Ebisanyusa, emikolo n’empummula
Abalongo
Abazadde bateekateeka okwalula abalongo mu luwummula. Kya buwangwa okwalula abaana.
Abantu baleeta ebirabo bingi. Baleeta engoye,
emmere, enkoko, embuzi ne ssekkokko. Bategeka ekijjulo makeke. Bayimba ennyimba eziwaana
abalongo era ne bazina. Ekyalo kyonna kisanyuka.
190
190
Term 3 Week 11 Day 3
Emikolo gy’obuwangwa n’empummula
Ebigambo byaffe kuzannya
kusiika
kulya
kutuuma
kunywa
kwalula
Okuzimba emboozi Abaana bazannya akapiira. Abaana baazannya akapiira. Abawala berabira okulya. Abawala beerabira okulya. Abalenzi basiika kabalagala. Abalenzi baasiika kabalagala.
Term 3 Week 11 Day 4
191
191
Ebisanyusa, emikolo n’empummula
Abalongo Ku kyalo Kito bazaalayo abalongo. Ssaalongo ne Nnaalongo baavu. Tebalina bintu bya kulabirira baana bano. Tebalina ngoye za kwambaza
baana. Tebalina mmere ebamala. Abantu abamu babasaasira okufuna obuvunaanyizibwa obwo. Abantu abalala babasanyukirako.
Abazadde bateekateeka okwalula abalongo mu luwummula. Kya buwangwa okwalula abaana.
Abantu baleeta ebirabo bingi. Baleeta engoye,
emmere, enkoko, embuzi ne ssekkokko. Bategeka ekijjulo makeke. Bayimba ennyimba eziwaana
abalongo era ne bazina. Ekyalo kyonna kisanyuka.
192
192
Term 3 Week 11 Day 5
Emikolo gy’obuwangwa n’empummula
Okwejjukanya zaala
zaala zaal-ibwa
zaala zaalibwa
kuuma
__________
___________
saba
__________
___________
Abaana bazannya akapiira. Abaana baazannya akapiira. Abasomesa basomesa Oluganda. Abayizzi bayigga ebisolo.
Term 3 Week 11 Day 5
193
193
194